Amawulire

Ebigezo byábayizi abaatuula ekibiina ekyo 7 bifulumya, Bakoze bulungi

Ebigezo byábayizi abaatuula ekibiina ekyo 7 bifulumya, Bakoze bulungi

Ivan Ssenabulya

January 27th, 2023

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Abayizi abaatuula ebigezo by’omwaka oguwedde eby’ekibiina eky’omusanvu bakoze bulungi ko okusinga ab’omwaka oguwedde.

Akulira ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo mu ggwanga,ekya UNEB, Daniel Odong, ategeezezza nti omugatte gw’abayizi emitwalo 81 mu 1810 bebatuula ku mugatte gw’emitwalo 83 mu 2, 654 abewandiisa okukola ebigezo.

Ku abo abatuula, emitwalo 11 mu 4,617 bayitidde mu daala erisooka, emitwalo 35 mu 7,799 bayitidde mu daala ly’akubiri, abalala emitwalo 14 mu 6,583 bayitidde mu daala lya 3 ate emitwalo 9 mu 5,702 bayitidde mu daala lya 4 ate emitwalo emilala 9 mu 7,109 bagudde ebigezo.

Kiko kitegeeza nti abayizi emitwalo 71 mu 4,702 ku mitwalo 81 mu 1810 abatuula ebugezo bayise era basobola okweyongerayo ku mutendera gwa Siniya.

Ono wabula agamba nti abaana abo abagudde ebigezo tebalina mukisa mulala gwonna okujjako okuddamu ekibiina eky’omusanvu.

Odongo era ategeezezza nga abaana bangi bayise okwegatta ku mutendera oguddako okusiga bwegubadde okuva emabega.

Mungeri yemu kitegeerekese nti Abayizi abalenzi basinze abaana ab’obuwala okuyita ebigezo.

Okusinziira ku Odongo, abayizi emitwalo 40 mu 100 abatuula ebigezo baali balenzi ate emitwalo 43 mu 2,554 baali bawala.

Ono agamba nti wadde ng’abawala baasinga abalenzi okukola essomo ly’olungereza, ate abalenzi beeliisa enkuuli mu masomo agasigaridde okuli SST, eddiini, science gattako n’okubala.