Amawulire
Ebigezo by’ekibiina ky’omusanvu bitandise
Ebibuuzo by’ekibiina eky’omusanvu bitandise olunaku lwaleero.
Abayizi abasoba mu mitwalo 58 beebasuubirwa okutuula ebigezo bino okwetoloola eggwanga.
Abayizi bano bakedde mu kigezo kya okubala ate olweggulo bakole Eddiini.
Ssabawandiisi w’ekibiina kya ekikola ku bigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations board (UNEB) agamba nti baasindise dda bakalondoozi b’ebibuuzo bino abasoba mu kanaana okukuuma abayizi bano nga bakola ebigezo.