Amawulire
Ebya S.6 bifulumye- abayizi bakoze bulungi- ebigezo 34 bikwatiddwa
Ebigezo bya siniya y’omukaaga bifulumiziddwa
Abayizi ku luno baakoze bulungi okusinga luli.Abayizi ebitundu 97 ku kikumi baayise ebigezo
Amasomo ga History ,Economics, Entreprenuership, ne CRE geegasinze okukolebwa obulungi.
Abagezo by’abayizi 34 bikwatiddwa
Abayizi 289,012 beebatuula ebigezo bino okwawawukanako n’abayizi emitwaalo 262,987 mu mwaka gwa 2012.
Kitegeeza nti waaliwo okweyongera kwa bayizi enkumi bbiri mu abiri mu bataano abatuula ebigezo.
Abayizi abawala abatuula ebigezo baali emitwalo kkumi n’esatu mu kasanvu bibiri nsanvu mu mukaaga nga bano baweza ebitundu 47.9ku kikumi kw’abo abayizi ebitundu 97.7 ku kikumi abaatuula ebigezo.
Wabula abayizi baakoze bubi amasomo ga sayansi ng’abayizi ebitundu ataano ku kikumi tebasobola kussa mu nkola byebasoma.
Bwegwatuuka ku ssomo lya Chemistry, abayizi baakolera ddala bubi.