Amawulire

Ebipya ku nyonyi eyabula

Ali Mivule

March 12th, 2014

No comments

Plane hunters

Ebipya bizuuliddwa ku nyonyi ya Malaysia eyabuze.

Obubaka obwasemba okuwerezebwa abaali ku nyonyi eno bulaga nga buli kimu kyaali bulungi

Omuyiggo gwenyonyi eno gukyagenda mu maaso ng’abayigga beebulunguludde agayanja g’omu South Asia.

Enyonyi eno eyali eyolekera eggwanga lya China yabula ng’eriko abantu 239.

Ku bantu bano 150 ba China.

Enyonyi eno kiteberezebwa nti yabulira ku nsala ya Malaysia ne Vietnam era nga waayita eddakiika ntono n’ebula.

Wabula yye minisita wa China akola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga agamba nti obubaka obwasindikibwa abagoba b’enyonyi eno bwaali bubuzabuuza nga kizibu okubukozesa mu muyiggo gwaabwe.

Enyonyi eno yabula ku lunaku lw’omukaaga nga kati nnaku ttaano ng’eyiggibwa.

Teri kipapangulo kyasangiddwa nga bbo ab’enganda z’abaali mu nyonyi eno basalawo kugumba ku kisaawe kye Malaysia nga balinda bubaka bwonna ku bantu baabwe.