Amawulire
Ebisale bya Bus babyongezza
Bya Musasi Waffe
Aba kampuni za Bus bongezza ebisale okuva e Kampal, okwolekera ebitundu byegwanga ebyenjawulo.
Akolanga ssentebbe wekibiina ekibagatta ekya United Bus Owners Association (UBOA) nga ye Solomon Nsimire agambye nti enkyukakyuka zino zigenda kutandika okukola olwaleero, ngagambye nti basoose kukola okwebuuza okumala ku nsonga wabulanga akitadde k bbeyi yamafuta eyarinnye wakati womwezi gwa Okitobba ne Novemba.
Okweyongera mu bisale kuli wakati wa 5000/- ne 8000/- ngebisale bino, byakubayamba okuziba omuwaatwa oguleteddwa olwamafuta agali waggulu.
Bino webijidde nga ne nnaku enekulu zisembedde, atenga munheri yeemu Robert Mutebi omuwandiisi ku bukulembeze bwekibiina agambye nti okulinnya kwebisale era kwekuusa ku mateeka nebiragiro bya ssenyiga omukambwe.
Kati abagenda e Masaka basasaula emitwalo 2.
Abadde e Mbarara basasaula emitwalo 4
E Fort Portal emitwalo 5
E Kasese emitwalo 6
E Gulu emitwalo 5
E Kitgum emitwalo 6 mu 5,000
E Kisoro emitwalo 8.