Amawulire
Ebisigalira bya faaza bizuuliddwa
Abakungu mu kunonyereza mu ggwanga lya Mexico bagudde ku bisigala bya father muna uganda mu ntaana omwazikibwa abantu abasoba mu 43 omwezi oguwedde.
Father John Ssenyondo ng’enaku z’omwezi 30mu mwezi gwokuna omwaka guno okuva mu ssaza lye Guerrero, abantu abatategerekeba bwebayimiriza emotooka mweyali atambulira, olwo nebamuteeka mu motoka endala nebamubuzawo.
Abanonyereza ku bisigalira beyambisiza amanya nga Father Kayondo geyali yakuula, okuzuula ebisigalira bye.
Father Ssenyondo abadde amaze emyaka 5 ngakolera mu ggwanga lyA Mexico.
Akulira diocese lya Chilpancingo-Chilapa mu ggwanga lya Mexico Victor Aguilar,agambye nti n’okutuusa kati tebamanyi songa lwaki Father Kayondo yatibwa.
Wabula abakulira enzikiriza yabakatoliki mu ggwanga tebanavaamu mwansi kunsonga eno.