Amawulire

Ebivudde mu siniya y’okuna bifulumye- 1939 bikwatiddwa

Ali Mivule

February 3rd, 2015

No comments

UNEB

Ebyava mu bigezo bya siniya 4 bifulumye nga era abayizi bakoze bulungi okusinga ku mulundi ogwayita.

Abalenzi  bakozi bulungi okusinga banaabwe abawala nga era abalenzi 9.2% bayitidde mu ddaala erisooka bwogerageranya n’abawala  ku bitundu  6.1%

Wabula ebigezo by’abayizi 1939 bikwatiddwa lwa kubba bigezo okuva mu masomero 97.

Ku gamu ku massomero agaluguddemu kuliko St mary’s Lacho nga eno eby’abayizi 24 byebyakwatiddwa, Luweero View SS 24, Kikaaya college 39 by’ebikwatiddwa, Newcastle high school 49 ne kikaaya college 39 bebakoseddwa.

E wakiso ebigezo bya , Crane Field Mattugga  ne  St George High School bikwatiddwa.

Nga afulumya ebigezo bino minisita w’ebyenjigiriza   Jessica Alupo alagidde omuwandiisi w’enkalakalira okukola ku basomesa bonna abetaba mu kubbira abayizi ebigezo.

Minisita era alagidde  ab’ekitongole ky’ebyebigezo okusazaamu Center namba z’amassomero agakwatiddwa mu bubbi bw’ebigezo zino.

Kkwo Okugwa kw’abayizi kukendedde okuva ku  8.8% mu  2013 okutuuka ku  6.6% mu  2014.

Amasomo g’eddiini n’olungereza gakoleddwa bulungi sso nga  Geography, okubala  ne  Physics gakoleddwa bubi.

Amassomo okuli  chemistry, eby’obulimu n’obulunzi ne  byongedde okukolebwa obulungi bw’ogerageranya mu 2013.

Disitulikiti z’obuvanjuba bw’eggwanga zezisinze okukola obubi okuli  Namayingo, Bugiri, Buyende, Bulambuli Budaka ,  Busia.

Endala kuliko Gomba Amudat, ne Bukwo

Mu zikoze obulungi kuliko Kampala, wakiso, Mbarara,Bushenyi,Luweero ne Mukono.