Amawulire
Ebola akomyeewo
Omuntu omu kikasiddwa nti afudde oluvanyuma lw’obulwadde bwa Ebola okubalukawo mu district ye Agago.
Omuntu omulala naye ali ku ndiri okuva mu maka gamu ng’ono ajjanjabibwa mu ddwaliro lye Kalongo.
Omubaka omukyala ow’ekitundu kino Franca Akello agamba nti ministry y’ebyobulamu emaze okuyimbula abakugu baayo owkongera okwkebejja abantu abasemberedde omufu n’omulwadde.
Wabula ono agamba nti minisitule yabakakasizza nti Ebola ono yavudde Congo nga tabuna mangu era ng’akwata omuntu aluma ku ky’okulya ekiririddwaako alina ekirwadde kino.
Bamaze n’okussaawo ekifo eky’enjawulo omujjanjabibwa abalwadde.