Amawulire

Ebola atuuse Congo

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

Ebola

Ab’ebyobulamu mu ggwanga lya Congo bakakasizza nga ekirwadde kya Ebola byekilumbye eggwanga lyaabwe.

Minisita w’ebyobulamu mu ggwanga lino  Felix Numbi akakasizza nga abantu 2 bwebazuuliddwa nga balina Ebola ono mu ssaza lye Equateur oluvanyuma lw’abantu abenjawulo okutandika okufa mu ngeri etategeerekeka.

Wabula ab’ebyobulamu bagamba ebola ono tafaanana nga ali mu mawanga g’obugwanjuba bwa Africa naye nga naye wabulabe nnyo ddala.

Dr Numbi agamba baataddewo dda ebifo webagenda okukuumira abo bonna abanasangibwa nga balina ekirwadde kya Ebola.

So far 1,427 people have died from the virus.