Amawulire
Ebola ayingiddemu ttiyagaasi
Olutalo ku bulwadde bwa Ebola mu ggwanga lya Liberia luyingiddemu ttiyagaasi nga poliisi ewaliriziddwa okusattulula abantu ababadde beekalakaasa nga bawakanya eby’okussaawo envumbo ku bantu okumala gatambula.
Bino bibadde mu nzigotta mu bugwanuba bw’ekibuga Monrovia, ekikulu ekya Liberia
Abantu bana beebalumiziddwa mu kavuvungano kano
Liberia yeeyakasinga okufaamu abantu olw’ekirwadde kya Ebola nga wetwogerera bali 576
Abaayo bakyalemereddwa okugumira embeera y’obutabeera na baabwe nga balwadde ekirwadde kya Ebola
Bbo nno abalwadde ba Ebola babiri ababadde ku ddagala bawonye era nebasiibulwa