Amawulire
Ebya Crest Foam biranze- bakukwatibwa
Ebintu byongedde okwononekera abakulira ekkolero ly’emifaliso erya Crest Foam
Minisita w’ebigwa tebiraze n’ebibamba Hillary Onek alagidde abalikulira bonna bakwatibwe olw’omuliro ogwakutte nemufiiramu abantu 6.
Kino akisazeewo nga alambula ekkolero lino oluvanyuma lw’okukizuula nti ekkolero tekuli makubo gayitwamu nga omuliro gukutte sso nga era babadde bookyera n’ebyuuma munda mu kkolero lino ekimenya amateeka.
Nga enkuba bwetamanya nyumba mbi, minisitule y’abakozi nayo ab’ekkolero lino ebeganye.
Kitegerekese nti abakulira ekkolero lino tebaliwandiisa.
Kamissiona wa minisitule eno Mondo Kyateeka ategezezza nga abakulira ekkolero lino bwebaziimula amateeka nga abakuumi tebamala n’abantu webafulumira okwetaasa omuliro tekuli.
Ono aweze nga nabo bwebagenda mu maaso n’okunonyereza nga era bonna abaalagajalidde emirimu gyabwe bakukwatibwa.
Amakya galeero abamu ku bakozi ku kkolero lino abasoba mu 100 bakedde Ntinda okulaba ekigenda mu maaso.
Yye akulira poliisi enzinyamooto Joseph Mugisa ategezezza nga bwebatandise okunonyereza ku kyavuddeko omuliro guno nga era tebafuna mawulire gamuntu mulala ayinza okuba nga y’afiiridde mu muliro guno.
Ategezezza nga bwebogerageranya n’abakulira kampuni eno okuzuula ekyavuddeko omuliro guno.
Mungeri yeemu ebibiina by’abakozi bitukizza ekyabakozesa okufa ku bakozi baabwe okulaba nga baziyiza obubenje nga buno.
Kati ssentebe w’ekibiina ekigatta abibiina by’abakozi Usher Wilson Owere agamba minisitule y’abakozi esaana okutandika okulambula amakolero gano okulaba nga gagoberera amateeka g’abakozi okwewala obubenje nga buno .