Amawulire
Ebya Lukwago bijulidde
Kkooti etaddewo olunaku lwa bbalaza ssabiiti ejja okusalawo oba eyimiriza okuwulira omusango gwa loodimeeya Erias Lukwago mw’ayita okutaasa entebe ye
Ssabawolereza wa gavumenti yaddukira mu kkooti ejulirwaamu ng’asaba kiragiro ekiyimiriza okuwulira emisango gya Lukwago okutuusa ng’okwemulugunya kwe kukoleddwaako
Mu kwemulugunya kuno, Peter Nyombi nga ye ssabawolereza ayagala omulamuz akola ku musango gwa Lukwago Yasin Nyanzi agujjemu enta ng’alumiriza nti alimu kyekuubira kubanga yeeyawa Lukwago ekiragiro ekimuzza mu ofiisi
Olwaleero bannamateeka ba Lukwago nga bakulembeddwa Peter walubiri bagambye nti okwemulugunya kwa Nyombi kugendereddwaamu kulwyiisa musango n’okuzibikira enfuga y’amateeka
Omulamuzi Lydia mugambe wakusalawo ku nsonga eno nga 31 omwezi guno