Amawulire

Ebya Mobile mane bigenze mu kkooti

Ali Mivule

August 5th, 2014

No comments

Mobile money 2

Olutalo lw’okugyako aba Mobile Money omusolo lutuuse mu kkooti.

Minisita w’ebyenfuna  Maria Kiwanuka akubiddwa mu mbuga z’amateeka lwakutandika kujja musolo ku mobile Money abamuwawabidde kyebagamba nti kimenya mateeka g’ebyenfuna.

Joshua Tumwiine nga ono mukugu era yebuzibwako ku by’omusolo anenya Kiwanuka okubinika omusolo guno ogwa 10% ku Mobile Money mu mbalirira y’eggwanga eya 2014/2015 kubanga etteeka ly’ebyenfuna teryalambika  ngeri mirimu gya Mobile money bwejirina kutambula nga bwekiri ku zi banka kale nga tebasaana kugyibwako musolo.

Okusinziira ku bibalo, gavumenti esuubira obuwumbi obusoba mu 32 okuva mu musolo guno ogwabinikiddwa ku Mobile money.

Tumwiine ayagala kkooti erangirira nga bwekimemya amateeka era eyimirize bizizneesi zino okugyibwako omusolo wabula nga ye ssabawolereza wa gavumenti agamba guno omusango teguliimu nsa gugobwe.