Amawulire

Ebya Museveni okwesimbawo bitabudde bangi

Ali Mivule

February 10th, 2014

No comments

museveni in kyankwanzi

Ebya pulezidenti museveni okusembebwa okuddamu okwesimbawo bikyayogeza abantu ebikankana

Omubaka akiikirira ab’omu bugwanjuba, Gerald Karuhanga agamba nti okuddamu okukakasa museveni okwesimbawo kiraga nti ekibiina kino tekiriimu Demokulasiya.

Ekya Museveni okuddamu okwesimbawo kigambibwa okuba nga kyatandikiddwa ababaka Evelyn Anite, John Ssimbwa ne Barbara Nekesa era nga ssinga kyebagaala kiyitamu, pulezidenti Musevenia ganeda kuba yesimbawo omulundi ogw’okutaano

Karuhanga agamba nti era kano kandiba akakodyo okulemesa abalala abandyagadde okwesimbawo

Wabula yye minisita ow’olukale, Richard Tandwonga gamba nti ekyabakaka okuyisaamu pulezidenti ssi kyekisembayo