Amawulire

Ebya NRM bijulidde

Ali Mivule

January 8th, 2015

No comments

NRM CEC members arrive

Okukakasa olukiiko olufuzi olw’ekibiina kya NRM olujja kwongezeddwawo okutuusa ssaawa 7 ez’emisana.

Abana bano baalondebwa mu December w’omwaka oguwedde nga kuliko  Kasule Lumumba nga ssabawandiisi, Richard Todwong omumyukawe, Rose Namayanja nga omuwanika sso nga yye  Dr. Kenneth Omona ye mumyukawe.

Bano baalondebwa oluvanyuma lwa ssemateeka w’ekibiina kino okukyuusibwa nga kati ssentebe w’ekibiina y’alonda abana bano.

Mungeri yeemu  kkooti etaputa ssemateeka  eyongezzaayo okuwulira okusaba  kw’omu ku munakibiina kya NRM ayagala kkooti eyimirize okukakasa obukulembeze bw’ekibiina  kino obujja .

Kati yakusala eggoye ku nsonga eno ku ssaawa munaana n’ekitundu.

Mu bimu ku bifo ebivuddeko embeera eno kye kya ssabawandiisi w’ekibiina ekyalimu eyali ssabaminisita Amama Mbabazi .

Olunaku olw’eggulo bannamateeka b’ekibiina kya NRM baasabye kkooti egobe okusaba kuno kubanga buli kyakolebwa kyaali mu mateeka nga baagala era Benjamin Alipanga eyawaaba abasasule n’ensimbi zebasaasanyizza.

Alipanga ayagala n’ebyasalibwawo e Kyankwanzi  omukulembeze w’eggwanga okwesimbawo awatali amwesimbako mu kibiina mu kulonda kwa 2016 nabyo bisazibwemu.