Amawulire
Eby’ababaka bagobeddwa- kooti etaddewo olunaku
Kooti ey’okuntikko mu gganga etaddewo olunaku lwa nga 4 omwezi ogujja okusalawo ku nsonga z’ababaka abana abagobeddwa mu palamenti.
Ssabiiti ewedde, ababaka bano okuli Theodre Ssekkubo, Mohammed Nsereko, Wilfred NIwagaba ne Barnabas Tinkasimire bawaayo okwemulugunya mu kooti y’okuntikko nga bawakanya ekyasalibwaawo kooti
Bano okujulira baayise mu bannamateeka baabwe aba Caleb Alaka bagala kusooka kufuna kiragiro ekiyimiriza akakiiko akalondesa okujjuza ebifo byaabwe
Bbo ababaka abamu mu palamenti beewunyizza obwangu akakiiko akalondesa bwekakozesezza okujjuza ebifo bya bano.
Omubaka Ibrahim Ssemuju Nganda agamba nti kyannaku nti akakiiko tekategekanga kulonda kw aba ssentebe aba LC esookebwaako kyokka nga birudde nga bikalu
Nganda agamba kino kiraga nti akakiiko kano kalimu kyekubiira kyokka ate yoomu n’ategeeza nga bwebali abetegefu okudda mu kalulu.