Amawulire
Eby’abasiraamu bigaane
Kooti egaanye okuyisa ekiragiro ekiyimiriza ebigezo bya siniya y’okuna olunaku lw’enkya
Ekibinja ky’abayisiraamu kibadde kiddukidde mu kooti nga kyagaala abayizi abayisiraamu bakkirizibwe okulya eid nga bali waka
Abayizi beeboogerako beebali mu kukola ebigezo era siniya y’okuna
Bano bakulembeddwaamu Sadic kakaire ne Isota Maguma gamba bagaala kooti eragire ab’ekitongole ky’ebigezo basazeemu ebigezo ebirina okubaayo enkya byongezebweeyo.
Ab’ekitongole ky’ebigezo barangiridde nti ebigezo byakugenda mu maaso yadde nga gavumenti yalangiridde nti lunaku lukulu
Abawaabye bagambye nti ekikolwa ky’ekitongole ky’ebigezo kimenya mateeka nga bulijjo bandibadde bakolagana n’abayisiraamu okumanya ddi Eid lw’eberewo newatassibwaawo bigezo
Wabula kooti enkulu egambye nti abawaabye tebalina nsonga zikakakasa nsonga gyeboogerako era nga babalagidde n’okusasula kooti