Amawulire
Ebyapa mu ntobazi byakusazibwaamu
Gavumenti yakusazaamu ebyapa omutwalo gumu mu kasanvu ebiri mu ntobazi
Kiddiridde akakiiko k aba minisita akassibwaawo okulambula entobazi okumaliriza okuzirambula.
Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’obutonde bw’ensi, minisita akola ku by’obutonde, Ephraim Kamuntu agambye nti kino kigenda kukolebwa ku ttaka lya gavumenti n’erya mayilo nga liriko ebyaapa ebyakolebwa mu mwaka gwa 1995
Kigambibwa okuba ng’ebyapa 950 eby’entobazi biri mukono, 9000 biri Wakiso n’ebiralala 7500 biri Kampala.
Kamuntu agamba nti nga bamaze okusengula abaliriko olwo bakusengulwa, gavumenti yeddize ettaka