Amawulire
Ebye Makerere bisalibwaawo nkya
Abakulembeze b’ettendekero lye Makerere bategeezezza nga bwebagenda okuvaayo n’eky’okukolera abayizi abeekalakaasa olunaku lw’enkya
Kiddiridde abayizi okwekalakaasa olunaku lwaleero nga bawakanya eky’okwongeza ebisale by’okutikkirwa okuva ku mitwalo 9 okutuuka ku mitwalo 22
Mu kavuvungano, abayizi babiri beebalumiziddwa nga poliisi egezaako okulemesa abayizi
Kati amyuka ssenkulu Prof Barnabas Nawangwe agamba nti bagenda kutuulamu ng’abakulu n’oluvanyuma baveeyo n’ekiwandiiko olunaku lw’enkya
Bbo abayizi balemeddeko nti tebajja kukoma kwekalakaas okutuuka nga ensimbi zino zisse