Amawulire

Ebye Mulago bikyaali byampuna

Ali Mivule

January 7th, 2015

No comments

baby theft

Ebinaava mu kwekebejja omulambo gw’omwana akayaanirwa abazadde abagamba nti omwana waabwe yakyusiddwa mu ddwaliro e Mulago byakufuluma mu ssabbiiti emu

Omulambo gw’omwana ono gwakoleddwaako endagabutonde oluvanyuma lwa bazadde b’omwana okulumiriza nti omwana waabwe mulamu

Fred Sanyu  ne Lovinsa Atwongire bagamba nti bazaala omwana waabwe nga mulamu kyokka kyabbaggwaako okulaba nga babawaamu omufu

Abe Mulago bino babyegaanye dda nga bagamba nti omukyala yagenda okutuuka mu ddwaliro ng’omwana yafudde dda.

Kati yye akulira poliisi ye Mulago Hashim Kasinga agamba nti bakyanonyereza ku nsonga eno.