Amawulire
Eby’eggaali y’omukka biranze
Eby’okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka byongedde okulanda nga kati babiyingizzaamu n’omukulembeze w’eggwanga
Ababaka okubadde Theodore Ssekikubo, Wilfred Nuwagaba ne Barnabas Tinkasimire bagamba nti pulezidenti Museveni yalagira minisita omubeezi akola ku byenguudo John Byabagambi okukola oluguudo luno mu bwangu nebabuuka emitendera egyetaagisa.
Nga boogerako eri bannamawulire ku palamenti, ababaka bano bagamba nti pulezidenti Museveni yasisinkana n’akakiiko akakola ku by’okugaba kontulakiti okulaba nti banguyiriza emirimu
Pulezidenti Museveni , owa Rwanda Paul Kagame n’owa South Sudan batongoza omulimu gw’okuzimba oluguudo luno ssaabbiiti ewedde
Mu ngeri yeemu ababaka bano era bagaala tteeka erinayamba okulambika entambula y’eggaali y’omukka mu Uganda
Omubaka we Ndorwa mu buvanjuba Wilfred Nuwagaba agamba nti ebyeggaali byajjibwa mu minisitule ekola ku byenguudo nebidda wansi wa minisitule ekola ku byensimbi okuva kkampuni y’eggaali y’omukka lweyatundibwa ekyayongerawo emivuyo
Yyo nno kkooti eragidde bannamateeka mu musango ogwawaaba abantu abasengulwa ku luguudo lw’eggaali y’omukka okuwaayo empappula zonna ezeetagisa mu musango guno
Omulamuzi wa kkooti enkulu e Nakawa Wilson Musene Masalu kati omusango agwongezezzaayo okutuuka nga 11 omwezi gwa December
Mu mwezi gw’omwenda, kkooti yayimiriza okusengula abantu ababeera okumpi n’oluguudo lw’eggaali y’omukka