Amawulire

Ebyenfuna byéggwanga bya kwongera okukula ne bitundu 6%

Ebyenfuna byéggwanga bya kwongera okukula ne bitundu 6%

Ivan Ssenabulya

April 25th, 2022

No comments

Bya Tom Angulin,

Minisitule ye byensimbi egamba nti ebyenfuna byéggwanga byakwongera okukula mu mwaka gwensimbi ogujja  2022/23 okutuuka ku bitundu 6% okuva ku 3.8% mu mwaka gwebyensimbi 2021-22.

Okusinzira ku Matia Kasaija, kino kri kityo oluvanyuma lwa gavt okwongera amaanyi mu bannekolera gyange nokweyongera kwobwetaavu bwebintu.

Mu kwogerako ne bannamawulire mu Kampala, Kasaija agambye nti ne bannauganda okugemya ekirwadde ekya covid-19 kyayambako omuk weggwanga okugulawo ebyemirimu.

Minisita era agambye nti ne byobulimi byongedwamu amaanyi ekivirideko okweyongera kwe bitundibwa.