Amawulire
Ebyobufuzi byebisse NAADS
Eky’enkola ya NAADS obutavaamu bibala bigisuubirwaamu kissiddwa ku by’obufuzi ebigibaddemu
Olunaku lwajjo pulezidenti museveni yalagidde nti enteekateeka eno esazibweemu kubanga teyambye bantu kwejja mu bwavu.
Omubaka wa municipaali ye Rukungiri Roland Mugume agamba nti enteekateeka eno tebadde mbi wabula ng’ejuddemu eby’obufuzi kale nga teyinza kuyamba bantu.
Mugume era agamba nti gavumenti essira yandibadde erissa ku kutuukirira balimu bonna mu kifo ky’okulondobamua bamu