Amawulire

Eby’obutambi bitabuse- Eyabubunya akwatiddwa

Ali Mivule

February 5th, 2015

No comments

Kasumaali arrested

Poliisi ekutte omusajja agambibwa okutandika okubunya obutambi obuliko obuseegu nga buno bulaga munnamawulire Sanyu Mweruka nga yerigomba n’omusajja.

Ongom Kizito bangi gwebamanyi nga Kasumaali kati akuumibwa ku poliisi ye Katwe.

Omusasi waffe ali ku poliisi eno atutegezezza nga Kasumaali bwatuusiddwa ku poliisi ye Katwe emabega wa kabangali.

Aduumira poliisi ye Katwe Ibrahim Saiga akakasizza okukwatibwa kwa Kasumaali.

 

Bino bijidde mu kiseera nga minisita w’empisa n’obuntubulamu Father Simon Lokodo kyajje ategezezza nga bwebakizudde nga abakyaala bebalugwamu bwekituuka ku butambi buno nga era abasajja bebali emabega w’enkola eno.

Agamba abasajja abamu olubagaana nga  batiisatiisa okuswaza abakyaala bano wabula n’ategeeza nga kati bwebatandise okubagwa mu buufu okulwanyisa obuseegu buno.