Amawulire

Eby’okwerinda bibulamu ku palamenti- babaka

Ali Mivule

June 18th, 2014

No comments

pigs at parlaiment

Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti basimbudde nakakongo nga bagaala abavubuka abakwatiddwa ku palamenti olunaku lwajjo bayimbulwe

Robert Mayanja ne Norman Tumuhimbise bakwatiddwa bwebabadde beekalakaasiza ku palamenti n’obubizzi obwa kyenvu ku palamenti.

Ababaka okubadde Bernard Atiku,Joseph Ssewungu ne Mohammed Kivumbi bagamba nti abantu bano ddoboozi ly’abalala abatasobola kwogera ate ng’abandi bekyaawa.

Ekikolwa ky’abasajja bano nno okukuba poliisi akawunika nebayingira palamenti kyalese bangi nga batya.

Amyuka sipiika Jacob Oluonyah agamba nti kyannaku okuba ng’eby’okwerinda biri yegeyege mu bifo ebikulu ennyo ng’olukiiko olukulu olw’eggwanga.

Wabula Olanya agambye nti bafunye okukakasibwa okuva eri ab’ebyokwerinda ku palamenti nti obulamu bw’abakozi n’ababaka tebuli mu matigga.

Bino bigenze okuba biti nga ne poliisi yakategeeza nga bw’egenda okuddayo mu bifo byonna eby’olukale okulaba oba birina abakuumi abamala n’ekirala nti era bakola

Mu lukiiko olwetabiddwaamu abakulira poliisi bonna , abaduumira poliisi bategereganye okuddamu okulawuna ebifo byonna kubanga bakizudde nti abakulira ebifo bino balagaya dda nga kyangu abatujju okulumba.

Omwogezi wa poliisi Fred Enanga y’ategeezezza bino.