Amawulire
Eby’okwerinda binywezeddwa ku nsalo ya South Sudan
Poliisi ekwataganye n’ebitongole ebirala okuyiwa basajja baayo ku nsalo ya Uganda ne South Sudan oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti waliwo abayeekera abagaala okutanula olutalo.
Kiddiridde omwuendo gw’abantu abadduka mu ggwanga lya South Sudan okweyongera.
Akulira ebikwekweto mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi agamba nti bbo kyebagaala kwekukuuma bannayuganda obutakosebwa mu lutalo
Kyokka era Kaweesi agamba nti bakyetegereza embeera nga bayita mu kwogera n’abadduka emivuyo
Abayekeera ne gavumenti ya South Sudan bakyagenda mu maaso n’okusika omuguwa mu mbeera erumizza abantu ba bulijjo okusinga