Amawulire

Kenya erangiridde ennaku ssatu ez’okukungubaga

Ali Mivule

September 24th, 2013

No comments

Mourning

Gavumenti ya Kenya erangiridde ennaku ssatu ez’okukungubagira abantu abafiiridde mu bulumbaganyi obwakoleddwa abatujju ba Alshabaab.

AKulira eggwanga lya Kenya, Uhuru Kenyatta agambye nti kyannaku nti bannakenya bayiiye omusaayi kyokka n’asuubiza nti olutalo ku butujju lukyagenda mu maaso.

Yyo gavumenti ya Uganda  ekakasizza bannayuganda nti eby’okwerinda biri gguluggulu.

Minista akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga, Gen Aronda Nyakairima agamba nti okuva Uganda lweyasindika amaggye mu Somalia, abatujju bano tebaweera nga babadde bagala okulumba naye nga tebalina webayita Nyakairima wabula agamba nti tebebaase nga betegereza ebikolw aby’abatujju bano emisana n’ekiro.

Nyakairima abadde addamu ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga  ababadde babuuza ku byokwerinda bya Uganda bwebiyimiridde mu kaseera kano ng’abatujju bekansa

Ono wabula agamba nti bayigidde ku Kenya ebintu bingi nga bakwongera okunyweeza Mu kusooka ababaka basirikidde okujjukira abantu abattiddwa abatujju mu ggwanga lya Kenya Spiika Rebecca Kadaga awerezza obubaka obukungubagira abattiddwa abatujju bano

Ono agambye nti obulumbaganyi buno kyakuyiga kya maanyi eri Uganda ng’ebyokwerinda bisaanye okunywezebwa mu bifo byonna ebikungaanya abantu omuli ne palament

Akulira abavuganya mu palamenti, Nandala Mafaabi agambye nti obutebenkevu bw abuli munnayuganda yekirina okutwalibw nag’ekikulu Yye nampala wa NRM, Justine Lumumba asabye buli omu okubeera poliisi ya munne okulaba nti tewabaawo bulumbaganyi bwonna.

Okuddako mu Kenya, palamenti yaayo nayo etude naye ng’era ababaka benyamidde olw’obulagajjavu mu byokwerinda nga kyangu abatujju bano okukola obulumbaganyi.