Amawulire
Eby’okwerinda ku mizikiti
Poliisi yakwongera obukuumi ku mizikiti okulaba nti tegirumbibwa mu biseera by’ekisiibo
Akulira ebikwekweto amaze okulagirwa okulaba nti buli muzikiti gukebera abantu era nga n’ebifo byebakungaaniramu okusiibulukuka okukuumibwa.
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti ne poliisi ekola ku nsonga z’obutujju eyiiriddwa ku mizikiti gyonna okwewala obutujju bw’ekika kyonna
Kyo ekisiibo kiyingidde olunaku lw’okubiri ng’ennaku zino ekkumi ezisooka zakwegayirira.
Disitulikiti Khadhi wa Kampala Sheikh Kasule Ndirangwa agamba nti abayisiraamu balina okusaba ennyo ate nga nabo bwebasonyiwa ababaasobya.