Amawulire
Eby’omusawo Namubiru bibi- Byeyayogera bifuuse bujulizi
kkooti ekKirizza okweneneya kw’omusawo Rose Mary Namubiru agambibwa okukuba omwana empiso ya siriimu nga amaze okwefumita.
Namubiru yakirizza nga bweyafumita omwana ono ow’emyaaka ebiri n’kitundu n’empiso gyeyali amaze okwefumita nga ate alina siriimu wabula nti teyalina kigenderewa kyakusiiga mwaana ono iriimu.
Omulamuzi wa kooti ya Buganda Road Olive Kazarwe agamba mpaawo yatulugunyiza yadde okukaka Namubiru okukiriza kino era abasawo baamukebedde nga obwongo bwe bulamu bulungi.