Amawulire

Eddagalla lya kokoolo kyaddaaki lituuse

Ali Mivule

February 11th, 2014

No comments

cancer drugs

Gavumenti kyaddaaki ewerezza eddagala lya kokoolo mu ddwaliro e Mulago

Kiddiridde abakulira eddwaliro lino okwekubira omulanga nga bayita ku mukutu guno nga bategeeza nga abantu bataano bwebafa buli lunaku olw’obutabaawo ddagala

Eddwaliro lino libadde lifuna abantu 150 buli lunaku naye nga bataano kubano bafa kubanga babadde tebalina kyakubakolera

Ab’ekitongole ekikola ku by’eddagala olwaleero bevuddemu nebaweereza eddagala

Wabula omwogezi w’eddwaliro lino Christine Namulindwa agamba nti eddagala erimu tebalifunye kyokka nga musnayufu nti wakiri bafunyeeko erimu