Amawulire

Eddwaliro Entebbe, Naguru ne Poliisi ya CPS basaliddwako Amazzi lwa bbanja

Eddwaliro Entebbe, Naguru ne Poliisi ya CPS basaliddwako Amazzi lwa bbanja

Ivan Ssenabulya

June 6th, 2023

No comments

Bya Kevin Githuku,

Ekizibu ky’amazzi kibutikidde eddwaliro lya gavumenti erya Entebbe Regional Referral Hospital oluvannyuma lw’ekitongole ky’amazzi okusalako amazzi olw’obukadde bwensimbi za Uganda 488 ezibabanjibwa.

Kino kikosezza embyémpereza eri abantu nga obukadde busatu ne mitwalo 700 abajanjabibwa mu ddwaaliro lino okuva mu disitulikiti mukaaga.

Richard Tumwesigye, akulira eddwaaliro lino agamba nti ssente bafuna obukadde bwensimbi 120 buli mwaka okusasula amazzi ge bakoseza.

Ebbaluwa eyafulumizibwa nga June 1st okuva mu minisitule y’ebyensimbi eri akulira ekitongole kyámazzi ne kazambi, ngémutegeeza nga gavumenti bwegenda kukola ku bbanja lino gyebujja era nebasaba okukwatiriramuko nga bwebawenja ensimbi zino.

Wabula ekitongole kino kyagaanye okusaba kwa minisitule nga kiggumiza obwetaavu obw’amangu obwensimbi zino..

Henry Musasizi, Minisita omubeezi ow’ebyensimbi obuzibu buno abutadde ku nteekateeka embi wabula ategeezeza nti gavumenti yeewaddeyo okulaba ng’ensimbi ezisasulwa násaba gómazzi gabaweebwe.

Bino we bigidde nga ne kuddwaliro e Naguru embeera bwetibweeri songa ne ku poliisi ya CPS mu kampala amazzi gasaliddwako era lwa bbanja.