Amawulire
Eddwaliro Ly’e Kilembe Ligaddwa lwa Mataba
Eddwaliro ly’ekilembe mu district ye Kasese ligaddwa oluvanyuma lw’omugga Nyamwamba okuddamu okubooga amazzi neganjala mu busenge bw’abalwadde.
Abalwadde abasinga bekakabye nebava mu ddwaliro lino okuwona okutwalibwa amazzi gano nga ababadde obubi bayambiddwako abakulira district okubatwala ku lukalu.
Abasinze okukosebwa be banakawere n’abakyala abembuto
Agavayo era gooleka nga omuntu omu bwatwaliddwa amataba bweyabadde ali mu nimiro ye nga alima.
Byo ebyentambula byonna bigotaanye oluvanyuma lw’omugga omulala oguyitibwa Nyamugasani nagwo okubooga amazzi negasanyawo olutindo olw’ekiseera olubadde lwakazimbibwa olw’e Busasa Kyaruma.
Kati abatuuze abasinga badukidde mu nsonzi okujira nga bewogomako eyo