Amawulire
Ekibinja ku bicupuli
Poliisi y’ensi yonna etaddewo ekibinja ekigenda okuyamba okulwanyisa eby’amaguzi ebitali ku mutindo
Kiddiridde okukwatibwa kw’abantu 14 nga batunda ebyamaguzi ebikyaamu.
Amyuka akulira poliisi y’ensi yonna mu Uganda Elly Womanyi agamba nti ebintu bino babiggye mu kitundu kye Gaza Land, Yamaha Center, Kikuubo ne Container village.
Ono anyonyodde nti ebimu ku byebakutte mwemuli eddagala ly’ebiwuka, eby’amasanyalaze n’ebikozesebwa bakyala okwekolako.
Ekibinja kino kyakukola nga ebikwekweto mu kibuga nga bakolagana n’ekitongole ekiwooza ekya URA n’abakola ebintu ebicupulwa