Amawulire

Ekifo kya loodimeeya kyakujjuzibwa

Ali Mivule

February 26th, 2014

No comments

Lukwago

Akakiiko akalondesa kakasizza nti katandise okukola ku nteekateeka z;okulonda meeya w’ekibuga omuggya

Kino kiddiridde okufuna ekiwandiiko okuva eri ssabawolereza wa gavumenti ng’abasaba okutegeka okulonda.

AKulira akakiiko akalondesa Eng Badru Kiggundu agamba nti batandiseeko era ng’emyezi omukaaga weginaggweerako nga baliko webatuuse.

Kyokka Kiggundu asabye abantu okusigala nga bakkakkamu okulaba nti bakola emirimu gyaabwe mu bulungi awatali kutawanyizibwa

Mu ngeri yeemu, Kiggundu agamba nti enteekateeka z’okujjuza ebifo by’ababaka abana abagobwa mu palamenti ssabbiiti ewedde.

Ebifo ebyogerwaako kuliko ekye Lwemiyaga ,Ndorwa West, Buyaga west ne Kampala Central .