Amawulire
Ekikwekweto e Masaka
Police e masaka ekutte abantu 32 mu bikwekweto byaabyo byokufuuza abamenyi bamateeka abeeyongera buli lukya mukitundtu kino.
Kino kiddiridde obutemu obususse nga ne juuzi waliwo omusirikale wa police eyatibbwa munyendo nga alawuna ekitundu.
Ebikwekweto bino bikoleddwa mu bitundu bye Mukudde, Kasaana, Market Triangle, byonna ebiri e masaka.
Ebikwekweto bino bikolembeddwamu RDC we Masaka chris Owori Odoi natwaala police yomu Nyendo Christine Namawuba,
Namawuba agamba obuzzi bwemisango okweyongera kuvudde ku bavubuka abanywa enjaga, okunuusa amafuta nebiragalaragala ebirala.
Police era ezudde ekuttiya zenjaga 5, ebidomola 2 ebyamafuta genyonyi, emifaliso nengoye enzibe.
Abakwaatiddwa mulimu Julius Mwesigye, Martin Ssemyalo, Francis Kabiito, nabalala.
Bano baakugulwako emisango gyobubbi, okukwatibwa nebiragararagala , nemirala.