Amawulire

Ekikwekweto kiyodde abateberezebwa okubeera abatujju mu bitundu eby’e Nabweru mu Kampala

Ekikwekweto kiyodde abateberezebwa okubeera abatujju mu bitundu eby’e Nabweru mu Kampala

Ivan Ssenabulya

May 8th, 2023

No comments

Ritah Kemigisa. Ebitongole by’eby’okwerinda omuli amaggye ne Poliisi, biriko abantu 6 bebikutte mu bitundu by’e Nabweru ne Kazo mu Municipaali y’e Nansana oluvanyuma lwa bano okusangibwa n’ebintu ebikola bbomu enkolere.

Bano babakwatidde mu kikwekweto ekikoleddwa mu kio ekikeesezza leero, oluvanyuma lw’okufuna amawulire okuva mu bantu ne ba mbega nga gekengera abantu bano n’emilimu gyebakola.

Bino webijidde nga Poliisi yakedde kuyisawo kulabula nga bwewaliwo bannabyabufuzi abaludde nga bakunga abantu okwenyigira mu kwekalakaasa leero n’ekigendererwa eky’okulaga obutali bumativu n’engeri emilimu gyegitambuzibwamu mu gwanga.

Ayogerera eggye ly’eggwanga ekibinja eskisooka Maj Charles Kabona ategeezezza nti oluvanyuma lw’okukwata bano bagenda kugenda mu maaso n’okukola ebikwekweto n’okweongera okuzuula abantu abalala bano bebakolagana nabo.

Agamba nti ebintu bano byebabasanze nabyo bitera kukozesebwa mu mawanga agafumbekedde ebitundu eby’entalo okugeza nga e Somalia, DRC nga newano mu Uganda emabega byaliwo kko.

Ono kati asabye bannansi buli omu okubeera mbega wa munne n’okumanya nti mu bantu betuwangaala nabo mulimu abakozi bebikolobero.

Amyuka ayogerera Poliisi mu Kampala n’emilirano Luke Oweyesigire atubuulidde  nti abakwatiddwa kuliko Hamidu Ssekidde, Kalyango Mohamad, Ssali Arafat, Assiimwe Emmanuel, Abdul Katumba gattako ne Hamidu Muyonde.

Abana ku bano bakwatiddwa mu kilo ekikeesezza leero ate abalala ababiri bakwatiddwa ku makya g’olunaku olwa leero.