Amawulire
Ekikwekweto kiyodde amasimu
Amaduuka amaduuka agatunda amasimu agasoba mu 40 ku luguudo lwa Luwum Street gereeddwa nga tegasigazza yadde essimu emu.
gano gagaddwa mu kikwekweto ekikoleddwa ekitongole ekiwooza omusolo nga kiyambibwaako poliisi
Batandikidde ku bizimbe bya on Zainabu ne Mutaasa Kafeero olwo nebabuna ebizimbe ebirala okuli Garilaaya, Majestic n’ebirala.
Wabula abasubuuzi baatandise dda okwemulugunya ku kikwekweto kino nti abamu balekeddwa nga ate balulango mu kwepena omusolo ku masimu gano.