Amawulire
Ekikwekweto ku balya enguzi kiyodde
Ekiwendo ky’okukwata abaserikale ba poliisi ab’okunguudo abajja ensimbi ku bagoba b’ebidduka kyakanyweza 9.
Poliisi yatekewo ekibinja ky’abantu baayo abalondoola abatulafiki bano abagufudde omulimu okusaba ekyojja mumiro okuva eri badereeva naddala abo bebakwatira mu nsobi nga ate balina kubawa bibapupa okusasula engassi.
Nga ayogerako nebannamawulire olwaleero, akulira poliisi y’ebidduka mu ggwanga Dr.Steven Kasiima ategezezza nga bano bwebakwatiddwa okuva e Kawanda , Nsangi, Zanna, Buloba ne matugga.
Ategezezza nga bano bwebakwatiddwa lubona nga bajja ensimbi ku badereeva nga era baakusimbibwa maaso g’akakiiko ka poliisi akakwasisa empisa babitebye.