Amawulire
Ekirwadde ky’ebitooke e Sheema
Bya Ritah Kemigisa
Waliwo ekirwadde ekirumbye ebitooke mu district eziri mu maserengeta nobugwanjuba bwa Uganda.
Okusinziira ku akulira ebyobulimi mu district ye Sheema Nicholas Kagurusya lebitooke biwotoka endala, ngebyayokeddwa omuliro.
Kino basoose kukizuula mu bitooke e Kagongo, mu district ye Sheema, Bushenyi nemu district ye Mbarara nemu bitundu ebimu e Sembabule.
Agambye nti baategezezza dda ministry y’ebyobulimi, ku nsonga eno.
Wabula Kagurusya asabye abalimi okusooka okutema ebitooke byonna ebikoseddwa, mungeri yokulwanyisa ekirwadde kino obutasasaana.