Amawulire
Ekisulo kyábayizi kussomero lya Wings of Hope e Jinja kikutte omuliro
Bya Abubaker Kirunda,
Ebintu bya bukadde bitokomokedde mu nabbambula w’omuliro ogukutte ekisulo ky’abayizi b’essomero lya Wings of Hope Primary School erisangibwa mu gombolola y’e Buwenge mu district ey’e Jinja.
Omuliro guno gutandise tuuntu lya leero wabula abayizi babadde mu kibiina era mpawo noomu alumiziddwa.
Nanyini Ssomero lino Moses Waiswa, agamba nti obuliri n’ebikozesebwa by’abaana byonna bisirisse motoka enzilukirize omuliro n’abantu baabulijjo bwebabadde tebanatuuka kuguzikiriza.
Ekiviiriddeko omuliro guno negyebuli eno tekinategerekeka wabula nga bateebereza nti gandibeera amasanyalaze.
Ayogerera Poliisi mu bitundu bya Kiira James Mubi naye akakasizza omuliro guno.