Amawulire
Ekitongole ky’obujanjabi obwamangu kiweebwa ssente ntono
Bya Ritah Kemigisa
Ekitongole ekikola ku bujanjabi obwaangu, ekya Emergency Medical Services (EMS) wansi wa minisitule yebyobulamu bakubye omulanga ku nsonga uyensimbi ezibekubya empi, bagamba nti tezikyabasobozesa kukola mirimu.
Okusinziira ku kamisona wobujanjabi obwamangu Dr John Baptist Nambohe, baweebwa obuwumbi 6 nobukadde 800, nga ssente zino ntono nnyo bwogerageranya ku ssente obuwumbi 34 ezetagibwa.
Ssenyiga omukambwe COVID-19, bweyayingira mu gwanga mu March womwaka oguwedde kyalaga obunafu obuli mu kitongole kino.
Dr Nambohe agambye nti baali tebetegese kimala, nga baalina emmotoka ekiga kya Agafa-e Mulago oba amabulence 22 zokka, atenga ezisinga tezirna busobozi okutaasa abalwadde abayi.
Kati agambye nti bwebanaaba baakuziba miwaatwa egiriwo, betaaga obuwumbi 500 mu myaka 4 ejijja.