Amawulire

Ekitundu kyámasekati kyékisingamu abalwadde ba Kookolo mu Uganda

Ekitundu kyámasekati kyékisingamu abalwadde ba Kookolo mu Uganda

Ivan Ssenabulya

February 1st, 2023

No comments

Bya Moses Ndaye,

Ekitundu eky’omu masekkati géggwanga kinokodwayo okuba ekitundu ekisingamu abalwadde abatawanyizibwa endwadde ezeekuusa ku kookolo bw’ogeraageranya n’ebitundu ebirala.

Akulira ekitongole kya Uganda Cancer Institute Dr. Jackson Orem agamba nti ekitundu ekyamasekati kigobererwa ekitundu ky’obukiikakkono n’eky’amaserengeta.

Agamba nti ekitundu ky’amasekkati kye kisinga okubeera n’abalwadde ba kookolo kubanga amalwaliro agekebejja obulwadde buno okusinga gali mu masekati gegwanga

Dr. Orem bino abyogedde ng’aggulawo olukung’aana olw’ennaku bbiri olw’okumanyisa abantu ku kookolo oluwagirwa Daily Monitor, minisitule y’ebyobulamu ne NTV.

Agamba nti kookolo asinga okutawanya abantu mulimu ow’omumwa gwa nnabaana ng’akosa abakyala n’addirirwa atawanya abasajja.