Amawulire
Ekkanisa ya Uganda etongoza omwezi gwábaana
Bya Prossy Kisakye,
Ekkanisa ya Uganda leero etongoza omwezi ogugenda okuteeka essira ku baana.
Omwezi guno gwakubaawo buli mwaka mu mwezi gwe 11 n’ekigendrererwa kye kanisa wamu ne bannauganda bonna okukwatiza awamu ku kulwanyisa ebikolobero ebituusibwa ku baana.
Bwabadde atongoza ebikujjuko byomwezi guno, Ssabalabirizi wé Kanisa ya Uganda Kitaffe mu Katonda Samuel Stephen Kaziimba Mugalu, abatizza nábaana abasoba mu 20 abalabirirwa ku Sanyu Babies Home ekisangibwa e Namirembe mu Kampala.
Kazimba gyasinzidde nategeeza ng’efujjo erikolebwa ku baana bwekifuse endwadde eyetaaga okunoonyeeza eddaggala ng’obudde bukyaali.
Agamba nti ekisinga okwemuwelaliikiriza, byebikolwa bino okusigala nga bilondoola abaana n’okutuukira ddala mu masomero, mu bifo gyebasinziza gyewandisuubidde nti gyebandifunidde ku buweerero.
Akulira Sanyu Babies Barbara Mutagubya asibiridde entanda abazadde okukomya omuze gw’okusuula abaana abawere kuba beetaaga okukuzibwa okuyita mu maka basobole okuba ne nsibuko.
Ate ye akulira ekibiina kya dwelling places, mu Uganda, Maureen Muwonge, asiimye ekikolebwa ekanisa ya Uganda mu kufaayo ku ddembe lya baana ne yeyama okugikwasizaako.