Amawulire

Embalirira ya KCCA eyisiddwa mu bbugumu- Oluzungu lubizadde

Ali Mivule

September 3rd, 2014

No comments

Musisi celebrates

Embalirira y’ekitongole kya KCCA eyisiddwa wakati mu bbugumu mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga

Ababaka abakulembeddwaamu omubaka Medard Lubega Sseggona basimbidde ekkuuli embalirira eno olw’ebingi byebabagamba nti bibadde bissiddwamu ensimbi

Ababaka abalala era beemulugunyizza ne ku kya KCCA obutafa ku bannabyabufuzi nga tebebuuzibwaako.

Wabula abavuganya ababadde bawakanya embalirira eno babadde batono era bw’etyo n’eyisibwa.

Ababaka kino olubaddewo nebekandagga nebafuluma nga bagamba nti tebasobola kukkiriza nsimbi ya muwi wa musolo kuliibwa nga batunula

Embalirira eyogerwaako ya buwumbi 250.

Wabula kigambibwa okuba nti amyuuka sipiika Jacob Olanya akyusizza mu kibuuzo ababaka nebaddamu nedda nga bategeeza yye era ng’embalirira eno bagiyisizza nga tebategedde

Mu kusooka wabaddewo okusika omuguwa ku nsonga y’okugula akatale ka Usafi ku buwumbi 37.

Ababaka abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga basazeewo nti akatale kagulwe wabula ababaka abakulembeddwaamu Mathius Mpuuga nebakola alipoota yaabwe  nga bawakanya ekya KCCA okumala obuwumbi buno bwonna mu kugula akatale kano

Ababaka era beemulugunyizza ku buyinza bwa minisita wa kampala Frank Tumwebaze mu kuddukanya ekibuga

Beewunyizza lwaki minisita kati y’asalawo ku nsonga za KCCA ate ng’abantu balonda abakulembeze baabwe

Wabula Tumwebaze agamba nti bbo betegefu owkogeraganya ne Lukwago  ssinga aba akkirizza