Amawulire
Embalirira ya KCCA teyisibwa- Lukwago
Loodimeeya w’ekibuga Erias Lukwago ayagala palamenti eyimirize okuyisa embalirira ya KCCA kubanga emenya mateeka.
Ng’ayogerako eri bannamawulire mu maka ge e Wakaliga, Lukwago agambye nti amakubo aglina okuyitibwamu okutuuka ku mbalirira eno tegagoberereddwa.
Lukwago agamba nti n’ensimbi zenyini ezissiddwa mu bitongole ebitali bimu mpitirivu nga zireetawo akabuuza
Asonze ku buwumbi 36 ezigenda okussibwa mu katale ka USAFi ng’agamba ssente zino ssi za buntu bulamu
Ono era agamba nti USAFI katale ka bantu ssekinoomu nga tewali nsonga lwaki ensimbi bweziti empitirivu zissibwa mu katale.
Lukwago agamba nti okutuuka ng’amateeka g’embalirira amatuufu gayisiddwa, buli kimu kiyimirire.