Amawulire
Embalirira yéggwanga eya 2023/2024 esomwa leero
Bya Rita Kemigisa,
Minisita w’ebyensimbi olwaleero asuubirwa okusoma mu butongole embalirira y’eggwanga ngembalirirwamu obutabalika 52 nóbuwumbi 7 eyómwaka gw’ebyensimbi 2023/2024.
Okusinziira ku balondoola ebyenfuna mu ggwanga lino, embalirira eyayisibwa palamenti nga May 18 erabika nga nnene ku mpapula, obuwumbi 21.4 ziteekeddwa ku nsaasaanya, nga zino zikwata ku bintu ng’emirimu gy’eggwanika egyaweereddwa obuwumbi 18 n’obukadde 900,okusasula obusiimo bwábakozi nendala zakusasula abakozi abawumuula.
Enkulaakulana y’abantu etwala omugabo gwa butabalika 9 nóbuwumbi 5, ebyenfuga ne byokwerinda biweereddwa obutabalika 7 nóbuwumbi 5 nga minisitule y’ebyokwerinda n’abaazirwanako etwala Shs3.8 trillion.
Ebyentambula n’ebizimbe biweereddwa obuwumbi buna n’obukadde 400 ng’obuwumbi bubiri n’obukadde 40 zakugenda eri ekitongole ky’ebyenguudo ekya Uganda National Roads Authority okuzimba enguudo.
State House efunye obuwumbi bwa Shs417, wadde ng’abali ku ludda oluvuganya baasaba ensimbi zino zikendezebweko.