Amawulire
Embeera ewa Kisekka eteredde
Abasuubuzi mu katale ka Kisekka bazzeemu okukakkalabya emirimu oluvanyuma lw’okumala olunaku lulamba nga beekalakasa olunaku lwajjo.
Olwaleero abasuubuzi baggudde amaduuka era bangi balabiddwaako nga bakola gyaabwe
Ne poliisi eyabadde eyiiriddwa mu katale tekyaliiyo.
Olunaku lwajjo abasuubuzi bavudde mu mbeera nebeekalakaasa nga bawakanya eky’oksuengulwa mu katale kakulakulanyizibwe nga tebabafumidde wakudda
Abasuubuzi betwogeddeko nabo bagamba nti bakkirizza okugira nga bakola kyokka nga tekitegeeza nti bakkiriza ebikolebwa abakulembeze baabwe