Amawulire

Embeera ya Nnabakyala wa Bungereza yeeralikiriza

Embeera ya Nnabakyala wa Bungereza yeeralikiriza

Ivan Ssenabulya

September 8th, 2022

No comments

Bya BCC

Ab’oluganda lwa Nnabakyala wa bungereza queen Elizabeth bayitibwa bukubirire okumubeera ku lusegere oluvanyuma lwa basawo abamujanjaba okutegeeza nti embeera myali eyungula eziga.

Nnabakyala Elizabeth nga aweza egyobukulu 96, ye mukulembeze akyasinze okulwa ku nnamulondo, aludde nga mukosefukosefu mu lubiri lwe e Buckingham okuva ku nkomerero y’omwaka oguwedde.

Okuva mu gwe 10 omwaka oguwedde, Nnabakyala Elizabeth abadde takyakkirizibwa kuba nyo mu lujjudde.

Ku Lwokusatu yasazizzaamu n’olukiiko olwokumutimbagano lweyabadde alina okubaamu ne baminisita oluvannyuma lw’abasawo be okuweebwa amagezi okuwummulako.

Ensonda mu lubiri zitegeezezza nti ab’omu maka ge bayitibwa okujja okumubeerako ku lusegere mu kasera kano

Elizabeth abadde nnaabagereka wa Bungereza n’amawanga amalala agasukka mu kkumi okuva mu 1952, era ku ntandikwa y’omwaka guno yajaguza emyaka 70 kunnamulondo.

Ssabaminisita omugya owa bungereza Liz-Truss agambye nti eggwanga lyonna ligenda kweraliikirira nnyo olwamawulire gano.

Queen Elizabeth yazaalibwa nga 21 April 1926.

Yafuuka nnaabagereka mu February wa 1952, ku myaka 25.

Nóluvanyuma yatuuzibwa ku nnamulondo mu butongole mu June 1953 ng’alina emyaka 27.