Amawulire

Embeera ye Ebola e Kassanda ekyeralikiriza

Embeera ye Ebola e Kassanda ekyeralikiriza

Ivan Ssenabulya

October 27th, 2022

No comments

Bya Barbara Nalweyiso ne Juliet Nalwoga,

Minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng alaze nti kiyinza okutwala wiiki endala bbiri oba ssatu okutebenkeza Kassanda kuba y’esinze okukosebwa ekirwadde kya Ebola.

Bwabadde asisinkanye abakulembeze mu disitulikiti eno akawungeezi ka leero, Dr, Aceng agambye nti mu ssaawa 24 olunaku lw’eggulo abalwadde ba Ebola 12 bebafunise era abatuuze 457 bebakwataganako nabo baalondoolebwa.

Agamba nti kati beetaaga okuteekawo ekifo ekijjanjaba ekirwadde kya Ebola okuweereza ebyalo okuli Kalanwa ne Kiganda mu DISTRICT y’e Kassanda obulwadde gye businga okuwulirwa.

Abalwadde okuva e Kassanda n’okutuusa kati babadde batwalibwa mu disitulikiti y’e Mubende okufuna obujanjabi.

Agamba nti era baasazeewo okwongera ku muwendo gw’abakugu abeetegereza endwadde enkambwe mu kitundu kino okuva ku 7 abaliwo okutuuka waakiri ku 15.