Amawulire

Embuutu zivuga e Mawogola

Ali Mivule

July 30th, 2014

No comments

Ssabasajja

Embuutu z’ezivuga mu ssaza lya ssabasajja e Mawogola nga abaayo basuubira omutanda essaawa yonna.

Ssabasajja yasiima okukuliza amatikira ge ag’omulundi 21 mu ssaza lye lino nga era abaayo baasimbye dda ebiyitirirwa okumwaniriza mu ssanyu.

Beene asuubirwa okulambula emirimu egyenjawulo mu ssembabule mu magombolola 5 mu kaweefube w’okuzaamu abantu be amaanyi okwongera okukola.

Oluvanyuma namunswa wakukulemberamu okugema abantu ku gombolola ye Ntuusi nga era minisita w’ebyobulamu mu bwakabaka bwa Buganda Dr. Ben Mukwaya ategezezza nga buli kyetaagisa bwekyawedde edda.

Ssabasajja atudde ku namulondo y’abajajjabe okuva 1993 obwakabaka bwebwakomezebwawo.

Ate mungeri yeemu bbyo eby’okwerinda binywezeddwa e ssembabule nga era omubaka wa pulezidenti mu kitundu kino Joseph Ssekabiito ategezezza nga bwe baayiye dda abaserikale ba poliisi abasoba mu 1500.